Daniel 3:16-18

16 aSaddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne baddamu kabaka nti, “Ayi Nebukadduneeza, tekitugwanira kwewolereza mu maaso go ku nsonga eyo. 17 bBwe tunaasuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro, Katonda gwe tuweereza anaatuwonya ekikoomi ekyaka omuliro era anaatulokola mu mukono gwo, ayi kabaka. 18 cNaye ne bwe kitaabe bwe kityo, twagala okimanye, ayi kabaka nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa.”

Copyright information for LugEEEE